Isaiah 55

Abalumwa Ennyonta Bayitibwa

1 a“Kale mujje,
mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi.
Mujje mmwe abatalina ssente zigula,
mujje muweebwe bye mwagala,
envinnyo oba amata ebitali bya kugula
ebitaliiko miwendo gya kusasula.
2 bLwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya
muteganira ebyo ebitakkusa?
Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi,
emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.
3 cMumpulirize mujje gye ndi.
Muwulirize mubeere balamu;
nnaabakolera endagaano ey’olubeerera,
era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi.
4 dLaba namufuula omujulirwa eri abantu,
omukulembeze era omugabe w’abantu.
5 eLaba oliyita amawanga g’otomanyi,
era amawanga g’otomanyi galyanguwa okujja gy’oli.
Kiribaawo olw’obuyinza bwa Mukama Katonda wo
era Omutukuvu wa Isirayiri
kubanga akugulumizza.”
6 fMunoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika,
mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.
7 gOmubi aleke ekkubo lye,
n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye.
Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe
kubanga anaamusonyiyira ddala.

8 h“Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe
era n’amakubo gammwe si ge makubo gange,”
bw’ayogera Mukama.
9 i“Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi,
bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe,
n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.
10 jEra ng’enkuba bwetonnya
n’omuzira ne gugwa okuva mu ggulu
n’ebitaddayo,
wabula ne bifukirira ettaka, ebirime ne bikula,
ne bimerusa ensigo z’omusizi,
era ne biwa omuli emmere,
11 kbwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri;
tekiriddayo bwereere,
naye kirikola ekyo kye njagala
era kirituukiriza ekyo kye nakituma.
12 lKubanga mulifuluma n’essanyu
ne mugenda mirembe,
ensozi n’obusozi nabyo
ne bitandika okuyimba nga bibalabye,
n’emiti gyonna
ne gitendereza n’essanyu.
13 mMu kifo ky’omweramannyo mulimeramu olusambya,
ne mu kifo ky’omutovu mulimeramu omumwanyi.
Era kino kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe
era ako ke kaliba akabonero akataliggwaawo
ak’emirembe n’emirembe.”
Copyright information for LugEEEE